Yeremiya 47:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka
n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe
era n’okuwuuma kwa nnamuziga,
bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,
emikono gyabwe gya kulebera.
Ezeekyeri 26:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)“Era Mukama Katonda agamba nti, ‘Ndiweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni kabaka wa bakabaka, eri Ttuulo okuva mu bukiikakkono, ng’alina embalaasi n’amagaali, n’abeebagala embalaasi n’eggye eddene.
Read full chapter
Ezeekyeri 26:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, n’enfuufu yaazo erikubikka era ne bbugwe wo alinyeenyezebwa olw’amaloboozi g’embalaasi ennwanyi, n’olw’ebiwalulibwa n’amagaali bw’aliyingira mu wankaaki wo, ng’abasajja bwe bayingira mu kibuga, nga bbugwe waakyo abotoddwamu ekituli.
Read full chapter
Nakkumu 2:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Amagaali g’abalwanyi gatayira mu nguudo,
gadda eno n’eri,
galabika ng’emimuli egyaka,
gamyansa ng’eggulu.
Yeremiya 39:5-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Naye eggye ly’Abakaludaaya ne libagoba ne lisanga Zeddekiya mu nsenyi ez’e Yeriko, ne bamuwamba, ne bamuleeta eri kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni e Libuna mu nsi y’e Kamasi; n’amusalira eyo omusango. 6 Kabaka w’e Babulooni n’attira batabani ba Zeddekiya mu maaso ga kitaabwe e Libuna, era kabaka w’e Babulooni n’atta abakungu ba Yuda bonna.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.