Add parallel Print Page Options

Obubaka Obukwata ku Bafirisuuti

47 (A)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:

(B)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono,
    galifuuka omugga ogwanjaala.
Galyanjaala ku nsi
    ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu.
Abantu balikaaba;
    bonna abali mu nsi baliwowoggana.
Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka
    n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe
    era n’okuwuuma kwa nnamuziga,
bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,
    emikono gyabwe gya kulebera.
(C)Kubanga olunaku lutuuse
    okuzikiriza Abafirisuuti bonna,
n’okusalako bonna abandisigaddewo
    abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.
Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti
    abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.
(D)Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga.
    Asukulooni alisirisibwa.
Ggwe eyasigala mu kiwonvu,
    olituusa ddi okwesalaasala?

(E)“ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba,
    obudde bunaatuuka ddi owummule?
Ddayo mu kiraato kyo
    sirika teweenyeenya.’
Naye kiyinza kitya okuwummula
    nga Mukama y’akiragidde,
ng’akiragidde
    okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”

Read full chapter

14 (A)Twalumba obukiikaddyo obw’Abakeresi[a], n’ensi ya Yuda n’obukiikaddyo obwa Kalebu, ne twokya ne Zikulagi.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 30:14 Abakeresi baali baganda b’Abafirisuuti. Oluvannyuma beegatta ku Dawudi ne balwanira wamu naye mu lutalo (2Sa 15:18; 20:7; 1Bk 1:38)

Obubaka eri Abafirisuuti

(A)Gaza kirirekebwawo,
    ne Asukulooni kiriba matongo:
abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu,
    ne Ekuloni kirisimbulibwa.
(B)Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,
    eggwanga ery’Abakeresi!
Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,
    ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.
Ndikuzikiriza
    so tewaliba asigalawo.

Read full chapter