Add parallel Print Page Options

22 (A)Abakazi bonna abasigadde mu lubiri lwa kabaka wa Yuda bajja kuleetebwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, bakugambe nti,

“ ‘Mikwano gyo gye weesiga
    baakubuzaabuza ne bakuwangula.
Kaakano otubidde mu ttosi.
    Mikwano gyo gikudduseeko.’ 

Read full chapter

31 (A)Mpulira okukaaba ng’okw’omukazi alumwa okuzaala,
    okusinda ng’okw’oyo asindika omwana we asooka,
okukaaba kw’omuwala wa Sayuuni ng’awejjawejja anoonya w’anassiza omukka,
    ng’agolola emikono gye ng’agamba nti,
“Zinsanze nze, nzirika.
    Obulamu bwange buweereddwayo mu batemu.”

Read full chapter