Add parallel Print Page Options

43 (A)Era nate ennimiro zirigulwa mu ggwanga lino lye mugamba nti, ‘Lifuuse matongo agatagambika, omutali bantu wadde ensolo kubanga kiweereddwayo eri Abakaludaaya.’

Read full chapter

10 (A)Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo,
    era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira
    olw’abantu bange abannoonya.

Read full chapter

11 “ ‘Era bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndinoonya endiga zange ne nzirabirira. 12 (A)Ng’omusumba bw’alabirira ekisibo kye ng’ezimu ku ndiga zisaasaanye okumuvaako, bwe ntyo bwe ndizirabirira. Ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire olw’ekizikiza. 13 (B)Ndiziggya mu mawanga ne nzikuŋŋaanya mu nsi gye zaasaasaanira ne nzikomyawo mu nsi yaazo. Ndiziriisiza ku nsozi za Isirayiri okumpi n’enzizi ne mu bifo byonna ebibeerwamu mu nsi. 14 (C)Ndizirabiririra mu ddundiro eddungi ne ku ntikko z’ensozi za Isirayiri we zirirundirwa. Eyo gye zirigalamira mu ddundiro eddungi era gye ziririira omuddo omugimu ku nsozi za Isirayiri. 15 (D)Nze kennyini ndirabirira endiga zange, ne nzigalamiza wansi mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter