Add parallel Print Page Options

(A)Amaggye ga kabaka w’e Babulooni gaali gazingizza Yerusaalemi, era ne Yeremiya nnabbi baali bamusibidde mu luggya lw’omukuumi mu lubiri lwa kabaka wa Yuda.

(B)Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibidde eyo ng’agamba nti, “Lwaki otegeeza obunnabbi mu ngeri eyo? Ogamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama. Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka w’e Babulooni, era agenda kukiwamba.

Read full chapter

21 (A)Kabaka Zeddekiya n’alyoka alagira Yeremiya okuteekebwa mu luggya lw’abakuumi n’aweebwanga omugaati buli lunaku okuva ew’omufumbi waagyo mu Yerusaalemi, okutuusa emigaati lwe gyaggwa mu kibuga. Awo Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abaserikale abakuumi.

Read full chapter