Add parallel Print Page Options

14 (A)Abakuyamba bonna bakwerabidde
    tebakufaako.
Nkukubye ng’omulabe bwe yandikoze
    ne nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze,
kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyo
    n’ebibi byo bingi ddala.

Read full chapter

(A)Mukama azikirizza
    abatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira;
mu busungu bwe amenye
    ebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda;
assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu be
    n’abamalamu ekitiibwa.

Read full chapter

17 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Mulowooze kaakano, muyite abakazi abakungubazi, bajje;
    era mutumye abasingayo obumanyirivu.
18 (B)Leka bajje mangu
    batukaabireko
okutuusa amaaso gaffe lwe ganaakulukuta amaziga,
    n’obukoowekoowe bwaffe ne butiiriika amazzi.
19 (C)Kubanga amaloboozi ag’okukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni;
    ‘Nga tunyagiddwa!
    Nga tuswadde nnyo!
Tuteekwa okuva mu nsi yaffe
    kubanga amayumba gaffe gazikiriziddwa.’ ”

20 (D)Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda,
    era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo ky’akamwa ke.
Muyigirize bawala bammwe okukaaba,
    era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.

Read full chapter