Add parallel Print Page Options

15 (A)Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera.

Read full chapter

10 (A)“Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga,
    mukyogere mu nsi ezeewala.
‘Oyo eyasaasaanya Isirayiri alibakuŋŋaanya
    era alirabirira ekisibo kye ng’omusumba w’endiga.’

Read full chapter

23 (A)Ndiziwa omusumba omu, omuweereza wange Dawudi, alizirunda; alizirabirira era aliba musumba waabwe.

Read full chapter

10 (A)“ ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange,
    toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’
    bw’ayogera Mukama.
‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala,
    nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse.
Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu,
    era tewali n’omu alimutiisatiisa.

Read full chapter

27 (A)“Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange;
    toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri.
Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo eky’ewala,
    n’ezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse bwalyo.
Yakobo aliddamu okufuna emirembe n’atebenkera,
    era tewali alimutiisa.
28 (B)Totya, ggwe Yakobo omuddu wange,
    kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama.
“Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna
    gye nabasaasaanyiza,
    naye mmwe siribazikiririza ddala.
Ndibabonereza naye mu bwenkanya;
    siribaleka nga temubonerezebbwa.”

Read full chapter

39 (A)Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero.

Read full chapter