Add parallel Print Page Options

16 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti,

“Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza:
    babajjuza essuubi ekyamu.
Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe,
    so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.

Read full chapter

24 (A)Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye n’abalonde ba Katonda.

Read full chapter

22 (A)Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo, nga bagenderera okulimba n’abalonde ba Katonda.

Read full chapter

26 (A)Zibasanze mmwe abantu bonna bwe babawaana,
    kubanga bwe batyo bajjajjammwe bwe baayisa bannabbi aboobulimba.”

Read full chapter

Abayigiriza ab’Obulimba

(A)Naye waaliwo ne bannabbi ab’obulimba mu bantu, era nga bwe walibaawo abayigiriza ab’obulimba mu mmwe. Baliyingiza mu nkiso enjigiriza enkyamu etwala abantu mu kuzikirira. Balyegaana ne Mukama waffe, ne beereetako okuzikirira okw’amangu.

Read full chapter

Mugezese Emyoyo

(A)Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi ab’obulimba bangi mu nsi.

Read full chapter

13 (A)Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ng’ebikere nga giva mu kamwa k’ogusota, n’ak’ekisolo, n’aka nnabbi ow’obulimba.

Read full chapter

29 (A)Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo.

Read full chapter