Add parallel Print Page Options

21 (A)Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga
    naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’
Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo,
    togonderanga ku ddoboozi lyange.

Read full chapter

28 Noolwekyo bagambe nti, ‘Lino ly’eggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe.

Read full chapter

28 (A)Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange.
    Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange;
    ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Read full chapter

(A)Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima?
    Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta,
    naye ne bagaana okukangavvulwa.
Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga n’amayinja;
    era bagaanyi okwenenya.

Read full chapter