Add parallel Print Page Options

26 (A)Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa,
    n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo,
bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo,
    era ne bannabbi baayo,

Read full chapter

(A)Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange;
    nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe[a] gwange.

Read full chapter

Footnotes

  1. 16:4 Okunyeenyeza omuntu omutwe kyalaganga nga bw’onyoomye omuntu oyo. Kyali kivumo

16 (A)Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
    ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
    era ne banyeenya emitwe gyabwe.

Read full chapter

(A)Tonjeeyereza ggwe omulabe wange,
    kubanga wadde ngudde, nnaayimuka.
Ne bwe naatuula mu kizikiza,
    Mukama anaabeera ekitangaala kyange.
(B)Nnaagumikirizanga Mukama bw’anaabanga ambonereza,
    kubanga nnyonoonye mu maaso ge,
okutuusa lw’alimpolereza,
    n’anziza buggya.
Alindeeta mu kitangaala,
    era ndiraba obutuukirivu bwe.
10 (C)Olwo omulabe wange alikiraba,
    n’aswala,
oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti,
    “Ali ludda wa Mukama Katonda wo?”
Ndisanyuka ng’agudde,
    era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo.

Read full chapter