Add parallel Print Page Options

21 (A)Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala,
    obaweeyo battibwe n’ekitala.
Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu;
    abasajja baabwe battibwe;
    abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.

Read full chapter

11 (A)Amatabi gaakyo bwe gakala,
    gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro.
Bano bantu abatategeera,
    eyamukola tamusaasira,
    n’eyamutonda tamukwatirwa kisa.

Read full chapter

(A)Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,
    era mmusindika eri abantu abansunguwazizza,
abanyage, ababbire ddala,
    n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.

Read full chapter

(A)Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,
    abantu abajjudde obutali butuukirivu,
ezzadde eryabakola ebibi,
    abaana aboonoonyi!
Balese Mukama
    banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,
    basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.

Read full chapter

34 (A)Mmwe abaana b’embalasaasa, mmwe abalina ebibi muyinza mutya okwogera ebirungi? Akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.

Read full chapter

25 (A)Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be,
    n’agolola omukono gwe n’abasanjaga,
ensozi ne zikankana
    era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo.

Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana
    era omukono gwe gukyagoloddwa.

Read full chapter