Omubuulizi 7:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Ow’amagezi ne bw’aba omu mu kibuga,
aba w’amaanyi okusinga abakulembeze ekkumi ab’omu kibuga ekyo.
Omubuulizi 9:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Amagezi gasinga ebyokulwanyisa mu lutalo,
naye omwonoonyi omu azikiriza ebirungi bingi.
Omubuulizi 7:11-12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika,
era kigasa abo abakyalaba enjuba.
12 Amagezi kiwummulo,
ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo,
naye enkizo y’okumanya y’eno:
amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.