Add parallel Print Page Options

Owoomukwano

(A)Ng’olabika bulungi, gwe njagala, laba ondabikidde bulungi.
    Amaaso go mayiba mu lugoye mw’ogabisse.
Enviiri zo ziri ng’eggana ly’embuzi
    eziserengeta okuva ku lusozi Gireyaadi.
(B)Amannyo go gali ng’ekisibo ky’endiga nga kye zijje zisalibweko ebyoya,
    nga ziva okunaazibwa.
Buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,
    so tewali eri yokka.
(C)Emimwa gyo giri ng’ewuzi ey’olugoye olutwakaavu;
    n’akamwa ko kandabikira bulungi.
Amatama go mu lugoye lw’ogabisseeko
    gali ng’ekitundu ky’ekkomamawanga.[a]
(D)Ensingo yo eri ng’omulongooti gwa Dawudi,
    ogwatereezebwa obulungi;
ne ku gwo nga kuliko engabo lukumi,
    zonna nga ngabo z’abasajja abalwanyi.
(E)Amabeere go gombi gali ng’abaana b’empeewo,
    ab’empeewo, nga balongo,
    abaliira mu malanga.
(F)Okutuusa obudde nga bukedde,
    n’ebisiikirize nga biweddewo,
ndigenda ku lusozi olunene olwa mooli
    ne ku kasozi ak’omugavu.
(G)Ng’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange,
    toliiko bbala na limu.

(H)Jjangu tuve mu Lebanooni, omugole wange,
    jjangu tuve mu Lebanooni.
Lengera okuva ku ntikko ya Amana,
    n’okuva ku ntikko ya Seniri ne ku ntikko ya Kerumooni,
n’okuva mu mpuku ey’empologoma,
    ne ku nsozi ez’engo.
(I)Osenzesenze omutima gwange,
    mwannyinaze, omugole wange;
otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso lyo gy’onkubye,
    n’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo.
10 (J)Ng’okwagala kwo kulungi mwannyinaze, omugole wange,
    okwagala kwo nga kusinga nnyo envinnyo,
    n’akawoowo ak’amafuta go kasinga eby’akawoowo eby’engeri zonna obulungi.
11 (K)Emimwa gyo gitonnya obuwoomi ng’ebisenge eby’omubisi gw’enjuki, omugole wange;
    amata n’omubisi gw’enjuki biri wansi w’olulimi lwo.
    Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni.
12 (L)Oli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange,
    era oli luzzi olwasibibwa[b], ensulo eyateekebwako akabonero.
13 (M)Ebimera byo nnimiro ya mikomamawanga,
    erina ebibala byonna eby’omuwendo,
    ne kofera n’emiti egy’omugavu
14     (N)n’omugavu ne kalikomu,
    ne kalamo ne kinamoni,
    n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna,
    ne mooli ne alowe,
    wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.
15 Oli nsulo ya nnimiro,
    oluzzi olw’amazzi amalamu,
    olukulukuta okuva mu Lebanooni.[c]

Omwagalwa

16 (O)Zuukuka gwe empewo ey’obukiikakkono,
    naawe empewo ey’obukiikaddyo jjangu.[d]
Mukuntire ku nnimiro yange,
    akaloosa, kaayo akalungi kasaasaane wonna,
Muleke muganzi wange ajje mu nnimiro ye,
    alye ebibala byamu eby’omuwendo.

Footnotes

  1. 4:3 Amakomamawanga mamyufu
  2. 4:12 Enzizi zaasibibwanga okukuuma amazzi gaamu nga mayonjo.
  3. 4:15 Ku ntikko y’Olusozi lwa Lebanooni lwalingako omuzira, ng’eyo amazzi gye gava ne gakola emigga egikulukuta amazzi agatakalira
  4. 4:16 Empewo ey’obukiikakkono ereeta obunnyogovu era ereka ebibala biramu bulungi. Empewo ey’obukiikaddyo ereeta kibuguumirize, era eyengeza ebibala. Empewo ez’engeri zombi zireeta akawoowo akalungi mu nnimiro

He

How beautiful you are, my darling!
    Oh, how beautiful!
    Your eyes behind your veil(A) are doves.(B)
Your hair is like a flock of goats
    descending from the hills of Gilead.(C)
Your teeth are like a flock of sheep just shorn,
    coming up from the washing.
Each has its twin;
    not one of them is alone.(D)
Your lips are like a scarlet ribbon;
    your mouth(E) is lovely.(F)
Your temples behind your veil
    are like the halves of a pomegranate.(G)
Your neck is like the tower(H) of David,
    built with courses of stone[a];
on it hang a thousand shields,(I)
    all of them shields of warriors.
Your breasts(J) are like two fawns,
    like twin fawns of a gazelle(K)
    that browse among the lilies.(L)
Until the day breaks
    and the shadows flee,(M)
I will go to the mountain of myrrh(N)
    and to the hill of incense.
You are altogether beautiful,(O) my darling;
    there is no flaw(P) in you.

Come with me from Lebanon, my bride,(Q)
    come with me from Lebanon.
Descend from the crest of Amana,
    from the top of Senir,(R) the summit of Hermon,(S)
from the lions’ dens
    and the mountain haunts of leopards.
You have stolen my heart, my sister, my bride;(T)
    you have stolen my heart
with one glance of your eyes,
    with one jewel of your necklace.(U)
10 How delightful(V) is your love(W), my sister, my bride!
    How much more pleasing is your love than wine,(X)
and the fragrance of your perfume(Y)
    more than any spice!
11 Your lips drop sweetness as the honeycomb, my bride;
    milk and honey are under your tongue.(Z)
The fragrance of your garments
    is like the fragrance of Lebanon.(AA)
12 You are a garden(AB) locked up, my sister, my bride;(AC)
    you are a spring enclosed, a sealed fountain.(AD)
13 Your plants are an orchard of pomegranates(AE)
    with choice fruits,
    with henna(AF) and nard,
14     nard and saffron,
    calamus and cinnamon,(AG)
    with every kind of incense tree,
    with myrrh(AH) and aloes(AI)
    and all the finest spices.(AJ)
15 You are[b] a garden(AK) fountain,(AL)
    a well of flowing water
    streaming down from Lebanon.

She

16 Awake, north wind,
    and come, south wind!
Blow on my garden,(AM)
    that its fragrance(AN) may spread everywhere.
Let my beloved(AO) come into his garden
    and taste its choice fruits.(AP)

Footnotes

  1. Song of Songs 4:4 The meaning of the Hebrew for this phrase is uncertain.
  2. Song of Songs 4:15 Or I am (spoken by She)