Add parallel Print Page Options

12 (A)Oli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange,
    era oli luzzi olwasibibwa[a], ensulo eyateekebwako akabonero.
13 (B)Ebimera byo nnimiro ya mikomamawanga,
    erina ebibala byonna eby’omuwendo,
    ne kofera n’emiti egy’omugavu
14     (C)n’omugavu ne kalikomu,
    ne kalamo ne kinamoni,
    n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna,
    ne mooli ne alowe,
    wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.
15 Oli nsulo ya nnimiro,
    oluzzi olw’amazzi amalamu,
    olukulukuta okuva mu Lebanooni.[b]

Read full chapter

Footnotes

  1. 4:12 Enzizi zaasibibwanga okukuuma amazzi gaamu nga mayonjo.
  2. 4:15 Ku ntikko y’Olusozi lwa Lebanooni lwalingako omuzira, ng’eyo amazzi gye gava ne gakola emigga egikulukuta amazzi agatakalira

(A)Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba.

Read full chapter

14 (A)Kale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga Mukama yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ng’olimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano.

Read full chapter