Olubereberye 43:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Awo Yusufu n’ayanguwa okuva mu maaso gaabwe, kubanga omutima gwe gwalumwa olwa muganda we, n’anoonya ekifo w’anaakabira. N’alinnya mu kisenge kye n’akaabira eyo.
Read full chapter
Isaaya 49:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
naye nze sirikwerabira.
Yeremiya 31:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Efulayimu si mwana wange omwagalwa,
omwana gwe nsanyukira?
Wadde nga ntera okumunenya
naye nkyamujjukira.
Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira;
nnina ekisa kingi gy’ali,”
bw’ayogera Mukama.
Koseya 11:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?
Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?
Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?
Omutima gwange gwekyusiza munda yange,
Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.