Add parallel Print Page Options

(A)Yuda, mwana w’empologoma.
    Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo.
Yakutama, yabwama ng’empologoma.
    Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?

Read full chapter

Ettabi Eririva ku Yese

11 (A)Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
    ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.

Read full chapter

10 (A)Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa.

Read full chapter

12 (A)Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti,

“Walibaawo muzzukulu wa Yese alijja
    era alisituka okufuga Abaamawanga,
era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”

Read full chapter

16 (A)“Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.”

Read full chapter