Add parallel Print Page Options

(A)Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Mukama. (B)Aberi naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. Mukama n’asiima Aberi n’ekiweebwayo kye. Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa.

Mukama n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa? (C)Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”

Kayini atta Aberi

(D)Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta.

Read full chapter

12 (A)si nga Kayini eyali owa Setaani, n’atta muganda we. Kale yamuttira ki? Kayini yatta muganda we kubanga Kayini yakola ebibi, so nga ye muganda we yakola eby’obutuukirivu.

Read full chapter

15 (A)abaakyama ne bava mu kkubo okufaanana nga Balamu mutabani wa Beyoli, eyayagala empeera ey’obutali butuukirivu.

Read full chapter

Okwewaggula kwa Koola ne Dasani ne Abiraamu

16 (A)Lwali lumu, Koola mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne bano abava mu Lewubeeni, Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, awamu ne Oni mutabani wa Peresi, bonna ne beewaggula (B)ne basituka ne boolekera Musa. Baali ne bannaabwe abasajja Abayisirayiri ebikumi bibiri mu ataano, abaali abamanyifu ennyo mu baana ba Isirayiri era nga bakiise mu Lukiiko Olukulu. (C)Ne bajjira wamu nga beekobaanye okwolekera Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Mwekulumbaza nnyo! Ekibiina kyonna, buli omu mu kyo mutukuvu, ne Mukama Katonda ali nabo. Kale, lwaki mwekulumbaliza ku kibiina ky’abantu ba Mukama?”

Read full chapter

31 (A)Awo bwe yali nga yakamala okwogera ebigambo ebyo, ettaka bali kwe baali bayimiridde ne lyabikamu wabiri, 32 (B)ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira n’ebintu byabwe byonna eby’omu maka gaabwe, ne basajja ba Koola bonna n’ebintu byabwe byonna. 33 Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, n’ebintu byabwe byonna bye baalina; ensi n’ebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe. 34 Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!”

35 (C)Olwo omuliro ne gujja nga guva eri Mukama ne gwokera ddala abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali bawaayo ekiweebwayo eky’obubaane.

Read full chapter