Add parallel Print Page Options

20 (A)Kale mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya;[a] tuligamba nti, ‘Ensolo enkambwe ye yamulya; tulabe ebirooto bye bwe birituukirira.’ ”

Read full chapter

Footnotes

  1. 37:20 binnya Entobo y’ebinnya ebyo yali ngazi okusinga omumwa gwabyo (Yer 38:6, 13)

11 (A)Kyokka kaakano amawanga mangi
    gakuŋŋaanye okubalwanyisa.
Boogera nti, Ayonoonebwe,
    n’amaaso gaffe geelolere Sayuuni.
12 (B)Naye tebamanyi
    birowoozo bya Mukama;
tebategeera kuteesa kwe;
    oyo akuŋŋaanya abalabe be ng’ebinywa by’eŋŋaano bwe bikuŋŋaanyizibwa mu gguuliro.

Read full chapter

28 (A)Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi.

Read full chapter

(A)Naye kaakano temuggwaamu mwoyo, oba temwekubagiza olw’okuntunda wano, kubanga Katonda yantuma mbasookeyo nsobole okuwonya obulamu.

Read full chapter