Add parallel Print Page Options

(A)Batabani ba Yakobo ne bakomawo eka nga bamaze okukitegeera. Ne banakuwala era ne basunguwalira nnyo Sekemu olw’okukola eky’ekivve era ekitasaana mu Isirayiri.

Read full chapter

(A)Kale nno nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo anattibwanga, kubanga anaabanga abasasamaza mujeemere Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, n’abanunula mu nnyumba ey’obuddu, nnabbi oyo ng’akusasamaza, ove mu kkubo ettuufu Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw’otyo ekibi ekiri mu mmwe, bw’onookimalangamu.

Read full chapter

17 (A)“Mu bawala ba Isirayiri temukkirizibwenga kubeerangamu bamalaaya ab’omu masabo, n’abasajja abalya ebisiyaga nabo tebakkirizibwenga mu Isirayiri. 18 Toleetanga nsimbi, bamalaaya ze banaabanga bafunye mu bwamalaaya, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo okusasulira obweyamo, wadde ensimbi z’abasajja abalya ebisiyaga; kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala ebikolwa ebyo byombi.

Read full chapter

(A)Kyennava ntwala mukazi wange ne musalaasala, ne mpeereza ebitundu bye mu buli kifo eky’omugabo gwa Isirayiri, kubanga baakola ekikolwa eky’obugwenyufu era eky’ekivve.

Read full chapter

12 (A)N’amuddamu nti, “Nedda, mwannyinaze, tonkwata n’amaanyi. Ekyo tekikolwa mu Isirayiri. Tokola kya kivve bwe kityo.

Read full chapter