Add parallel Print Page Options

34 (A)Ate n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kale kaakano baze ajja kuba bumu nange, kubanga mmuzaalidde abaana abalenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumwa Leevi.

Read full chapter

(A)Abaleevi onoobawanga eri Alooni ne batabani be; baweereddwa ddala Alooni nga baggyibwa mu baana ba Isirayiri.

Read full chapter

(A)Omuleevi bw’anaavanga mu kimu ku bibuga byo ebiri mu Isirayiri gy’abadde atuula, n’ajja nga bw’anaabanga yeeteeserezza, n’ajja mu kifo Mukama Katonda ky’aneeronderanga, anaayinzanga okuweereza mu linnya lya Mukama Katonda we okufaanana nga Abaleevi banne abalala aba buli kiseera abanaabanga baweereza mu linnya lya Mukama Katonda mu kifo ekyo.

Read full chapter

(A)Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri.

Read full chapter

(A)Abamu ku bantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abaaweerezanga mu yeekaalu, ne bagenda wamu naye e Yerusaalemi mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa kabaka Alutagizerugizi.

Read full chapter

Okuddayo e Yerusaalemi

15 (A)Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogukulukutira e Yakava, ne tusiisira eyo okumala ennaku ssatu. Awo bwe nnali nga nneekebejja abantu ne bakabona, ne sirabamu Baleevi.

Read full chapter

24 (A)Abakulembeze b’Abaleevi baali: Kasabiya, ne Serebiya, ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri, n’abaabayambangako nga baboolekedde, nga batendereza era nga beebaza, ng’ekibinja ekimu kiddamu ekirala kye biyimba, nga Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.

Read full chapter

(A)Awo Yesuwa ne batabani be ne baganda be, ne Kadumyeri ne batabani be, ne bazzukulu ba Yuda, nga bayambibwako ne batabani ba Kenedadi n’Abaleevi bonna ne bavunaanyizibwa okulabirira omulimu ogw’okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.

Read full chapter