Add parallel Print Page Options

33 (A)N’aba olubuto olulala, n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye nga ndi mukyawe, kyavudde ampa omwana owoobulenzi omulala; n’amutuuma erinnya Simyoni.”

Read full chapter

Omugabo gwa Simyoni

19 (A)N’akalulu akookubiri kaagwa ku Simyoni, kye kika ky’abaana ba Simyoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali n’omugabo gwabwe bwe gwali mu makkati g’omugabo gw’ekika kya Yuda. (B)Kyali kitwaliramu

Beeruseba, oba Seba, ne Molada, ne Kazalusuwali ne Bala, ne Ezemu, ne Erutoladi ne Besuli, ne Koluma, ne Zikulagi ne Besumalukabosi, ne Kazalususa ne Besulebaosi ne Salukeni ebibuga kkumi na bisatu n’ebyalo byabyo.

(C)Ayini ne Limmoni ne Eseri, ne Asani ebibuga bina n’ebyalo byabyo, (D)n’ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, ye Laama ekiri mu bukiikaddyo.

Ebyo bye bitundu abaana ba Simyoni bye baagabana ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. (E)Ettaka abaana ba Simyoni lye baagabana lyali wamu n’ery’abaana ba Yuda. Kubanga omugabo gw’abaana ba Yuda gwabasukkirira obunene; abaana ba Simyoni kyebaava bagabana wakati mu bitundu by’omugabo gwabwe.

Read full chapter