Add parallel Print Page Options

Esawu Agwa mu Lukwe

30 Amangu ddala nga Isaaka yakamala okuwa Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava wali Isaaka kitaabwe, Esawu n’atuuka ng’ava okuyigga. 31 (A)Era naye n’ateekateeka emmere ey’akawoowo n’agireetera kitaawe. N’agamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo gw’omwana wo olyoke onsabire omukisa.”

32 (B)Kitaawe Isaaka n’amubuuza nti, “Gwe ani?” Kwe kumuddamu nti, “Nze omwana wo omubereberye Esawu.”

33 (C)Olwo Isaaka n’akankana nnyo n’abuuza nti, “Ani oyo ayizze omuyiggo n’agundeetera ne ngulya ne ngumalawo nga tonnajja ne mmusabira omukisa? Era ddala ajja kuweebwa omukisa.”

34 (D)Awo Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe ebyo, n’atulika n’akaaba nnyo nnyini, n’agamba kitaawe nti, “Nange mpa omukisa, ayi kitange.” 35 (E)Naye n’amuddamu nti, “Muganda wo azze n’annimba era akututteko omukisa gwo.”

36 (F)Esawu n’ayogera nti, “Teyatuumibwa linnya lye Yakobo? Laba, anyingiridde emirundi gino gyombi; yanziggyako eby’obukulu bwange, ate kaakano antutteko n’omukisa gwange.” Kwe kubuuza kitaawe nti, “Tondekeddeewo mukisa n’akatono?”

37 (G)Isaaka n’addamu Esawu nti, “Laba, mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babe baweereza be, era mmusabidde abe n’emmere ey’empeke wamu n’envinnyo nga bingi ddala. Kale nnaakukolera ki mwana wange?”

38 (H)Esawu n’abuuza kitaawe nti, “Tolinaawo mukisa na gumu kitange? Nange mpa omukisa, ayi kitange.” Bw’atyo Esawu n’ayimusa eddoboozi lye n’akaaba.

39 (I)Awo Isaaka kitaawe n’amuddamu nti,

“Laba, onooberanga mu nsi enkalu,
    era toofunenga musulo guva waggulu mu ggulu.
40 (J)Ekitala kyo kye kinaakukuumanga,
    era onooweerezanga muganda wo.
Naye bw’olimwesimattulako,
    oliba weefunidde eddembe.”

Read full chapter