Add parallel Print Page Options

Abimereki Atwala Mukazi wa Ibulayimu

20 (A)Ibulayimu bwe yava eyo n’atambula okwolekera Negevu, n’abeera wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n’agenda mu Gerali. (B)Ibulayimu n’ayogera ku Saala mukazi we nti, “Mwannyinaze.” Abimereki kabaka we Gerali n’atumya n’atwala Saala.

(C)Naye Katonda n’ajja eri Abimereki mu kirooto ekiro n’amugamba nti, “Laba oli mufu, olw’omukazi gw’otutte kubanga muka musajja.” (D)Naye Abimereki yali tanneebaka naye, n’alyoka agamba nti, “Onotta abantu abataliiko musango. Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?’ Era ne Saala n’aŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu n’emikono gyange tegiriiko musango.”

(E)Awo Katonda n’ayogera naye mu kirooto nti, “Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako. (F)Kale kaakano zzaayo mukazi w’omusajja, kubanga nnabbi, era anaakusabira, nawe on’oba mulamu. Naye bw’otomuzzeeyo, manya ng’ojja kufa, ggwe ne by’olina byonna.”

Okwegayirira kw’Abimereki eri Ibulayimu

Awo Abimereki n’agolokoka mu makya ennyo n’ayita abakungu be bonna n’abategeeza ebintu bino byonna; abasajja ne batya nnyo. (G)Awo Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti, “Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, n’ondeetera nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? By’onkoze tebisaana kukolebwa muntu.” 10 Era Abimereki n’agamba Ibulayimu nti, “Wali olowooza ki okukola ekintu kino?” 11 (H)Ibulayimu n’addamu nti, “Nakikola kubanga nalowooza nti mu kifo kino temuliimu kutya Katonda n’akamu, era balinzita olwa mukazi wange. 12 Naze ebyo nga biri awo ddala mwannyinaze, muwala wa kitange, naye si muwala wa mmange; era yafuuka mukazi wange. 13 Katonda bwe yandeeta okuva mu nnyumba ya kitange, ne mugamba nti, ‘Eky’ekisa ky’oyinza okunkolera kye kino, buli kifo kye tutuukamu njogeraako nti ndi mwannyoko.’ ”

14 (I)Awo Abimereki n’atwala endiga n’ente, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi, n’abiwa Ibulayimu, n’amuddiza Saala mukyala we. 15 (J)Era Abimereki n’amugamba nti, “Laba ensi yange eri mu maaso go, beera w’oyagala.”

16 N’agamba ne Saala nti, “Laba mpadde mwannyoko ebitundu bya ffeeza lukumi, okukumalako ensonyi mu maaso gaabo bonna abali naawe.”

17 (K)Awo Ibulayimu n’asabira Abimereki eri Katonda, ne Katonda n’awonya Abimereki era n’awonya ne mukazi we; n’abaweereza be abakazi ne balyoka bazaala abaana. 18 (L)Kubanga Mukama yali aggalidde embuto z’ab’omu nnyumba y’Abimereki olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.

Abraham and Abimelek(A)

20 Now Abraham moved on from there(B) into the region of the Negev(C) and lived between Kadesh(D) and Shur.(E) For a while(F) he stayed in Gerar,(G) and there Abraham said of his wife Sarah, “She is my sister.(H)” Then Abimelek(I) king of Gerar sent for Sarah and took her.(J)

But God came to Abimelek(K) in a dream(L) one night and said to him, “You are as good as dead(M) because of the woman you have taken; she is a married woman.”(N)

Now Abimelek had not gone near her, so he said, “Lord, will you destroy an innocent nation?(O) Did he not say to me, ‘She is my sister,(P)’ and didn’t she also say, ‘He is my brother’? I have done this with a clear conscience(Q) and clean hands.(R)

Then God said to him in the dream, “Yes, I know you did this with a clear conscience, and so I have kept(S) you from sinning against me.(T) That is why I did not let you touch her. Now return the man’s wife, for he is a prophet,(U) and he will pray for you(V) and you will live. But if you do not return her, you may be sure that you and all who belong to you will die.”(W)

Early the next morning Abimelek summoned all his officials, and when he told them all that had happened, they were very much afraid. Then Abimelek called Abraham in and said, “What have you done to us? How have I wronged you that you have brought such great guilt upon me and my kingdom? You have done things to me that should never be done.(X) 10 And Abimelek asked Abraham, “What was your reason for doing this?”

11 Abraham replied, “I said to myself, ‘There is surely no fear of God(Y) in this place, and they will kill me because of my wife.’(Z) 12 Besides, she really is my sister,(AA) the daughter of my father though not of my mother; and she became my wife. 13 And when God had me wander(AB) from my father’s household,(AC) I said to her, ‘This is how you can show your love to me: Everywhere we go, say of me, “He is my brother.”’”

14 Then Abimelek(AD) brought sheep and cattle and male and female slaves and gave them to Abraham,(AE) and he returned Sarah his wife to him. 15 And Abimelek said, “My land is before you; live wherever you like.”(AF)

16 To Sarah he said, “I am giving your brother a thousand shekels[a] of silver. This is to cover the offense against you before all who are with you; you are completely vindicated.”

17 Then Abraham prayed to God,(AG) and God healed Abimelek, his wife and his female slaves so they could have children again, 18 for the Lord had kept all the women in Abimelek’s household from conceiving because of Abraham’s wife Sarah.(AH)

Footnotes

  1. Genesis 20:16 That is, about 25 pounds or about 12 kilograms