Add parallel Print Page Options

18 (A)Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: 19 Omukeeni, n’Omukenizi, n’Omukadumoni, 20 n’Omukiiti, n’Omuperizi, n’Abaleefa, 21 n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omugirugaasi n’Omuyebusi, mbagabula mu mukono gwo.”

Read full chapter

45 (A)Buli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira.

Read full chapter

(A)Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu.

Read full chapter

15 (A)Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri oli mutuukirivu, era otuleseewo ffe ekitundu kino leero. Laba tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango, newaakubadde nga tewali eyandisobodde okuyimirira mu maaso go.”

Read full chapter