Add parallel Print Page Options

15 (A)kubanga ensi gy’olaba ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo emirembe gyonna.

Read full chapter

17 (A)Musa n’abatuma okuketta n’okwetegereza ensi ya Kanani, n’abagamba nti, “Mwambuke nga muyita mu Negebu muggukire mu nsi ey’ensozi. 18 Mwetegerezenga ensi nga bw’efaanana, n’abantu baamu nga bwe bali, obanga ba maanyi oba banafu, obanga bangi oba batono. 19 Mulyetegereza obanga ensi mwe babeera nnungi oba mbi. Era muliraba ebibuga byabwe obanga tebiriiko bisenge bya bbugwe oba byetooloddwa bigo. 20 (B)Mulikebera okulaba obanga ensi yaabwe ngimu oba nkalu, era obanga erimu emiti mingi oba temuli. Mwenywezanga ne muleetayo ku bibala eby’omu nsi eyo.” Ekyo kye kyali ekiseera ezabbibu nga zaakatandika okwengera.

21 (C)Awo ne bambuka ne beetegereza ensi okuva mu ddungu lya Zini okutuuka e Lekobu okumpi n’awayingirirwa mu Kamasi. 22 (D)Ne bambuka mu Negebu ne batuuka e Kebbulooni, era wano Akimaani ne Sesayi ne Talumaayi abazzukulu ba Anaki nga we babeera. Kebbulooni bwe kyamala okuzimbibwa waayitawo emyaka musanvu ne Zowani eky’omu Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa. 23 Ne batuuka mu kiwonvu ekiyitibwa Esukoli[a] ne batemamu ettabi limu eryaliko ekirimba kimu ekya zabbibu, abantu babiri ne bakireetera ku musituliro. Era ne baleeta ne ku makomamawanga ne ku ttiini. 24 Ekifo ekyo ne kiyitibwa Ekiwonvu kya Esukoli, olw’ekirimba ekyo abaana ba Isirayiri kye baatemamu.

Abakessi Bakomawo

25 Awo nga wayiseewo ennaku amakumi ana ne bakomawo nga bamaze okuketta ensi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 13:23 Esukoli Kitegeeza kiwagu. Laba ne mu lunny 24