Add parallel Print Page Options

Bazzukulu ba Seemu

21 (A)Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.

22 (B)Abaana ba Seemu be bano:

Eramu, ne Asuli,[a] ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.

23 (C)Batabani ba Alamu:

Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi.

24 (D)Alupakusaadi ye kitaawe wa[b] Seera.

Seera ye kitaawe wa Eberi.

25 Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi,

kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.

Read full chapter

Footnotes

  1. 10:22 Asuli ly’erinnya ery’edda erya Busuuli.
  2. 10:24 yali kitaawe wa Kayinaani, ne Kayinaani nga ye kitaawe wa

34 (A)ne Yuda nga mwana wa Yakobo,

ne Yakobo nga mwana wa Isaaka, ne Isaaka nga mwana wa lbulayimu,

ne Ibulayimu nga mwana wa Teera, ne Teera nga mwana wa Nakoli,

35 ne Nakoli nga mwana wa Serugi, ne Serugi nga mwana wa Lewu,

ne Lewu nga mwana wa Peregi, ne Peregi nga mwana wa Eberi,

ne Eberi nga mwana wa Seera, 36 (B)ne Sera nga mwana wa Kayinaani,

ne Kayinaani nga mwana wa Alupakusaadi, ne Alupakusaadi nga mwana wa Seemu,

ne Seemu nga mwana wa Nuuwa, ne Nuuwa nga mwana wa Lameka,

Read full chapter