Add parallel Print Page Options

(A)Naye Mukama ajja kwawulamu amagana aga Isirayiri n’aga Misiri, waleme kubaawo nsolo n’emu efa mu magana ag’abaana ba Isirayiri.’ ”

Read full chapter

(A)Era enkeera Mukama n’akola ekikolwa ekyo: amagana aga Misiri gonna ne gafa, naye ne wataba nsolo n’emu ku magana ag’abaana ba Isirayiri eyafa.

Read full chapter

26 (A)Ekitundu kyokka ekitaatuukwamu muzira, kye kya Goseni, abaana ba Isirayiri gye baabeeranga.

Read full chapter

23 (A)Abantu bonna nga tewali asobola kulaba munne; era tewaali yaseguka kuva mu kifo kye w’abeera okumala ennaku ssatu. Naye bo abaana ba Isirayiri ewaabwe ng’obudde bulaba.

Read full chapter

(A)Naye mu baana ba Isirayiri n’embwa teribaayo gw’eboggolera wadde ebisolo byabwe; mulyoke mutegeere nga Mukama Abamisiri n’Abayisirayiri tabayisa bumu.’

Read full chapter

(A)Era Abamisiri balitegeera nti Nze Mukama, bwe ndirumba Misiri n’amaanyi ne nzigyayo Abayisirayiri.”

Read full chapter

29 (A)Musa n’addamu nti, “Olunaafuluma mu kibuga, nnaagolola emikono gyange waggulu eri Mukama ne mmusaba. Okubwatuka kunaasirika, n’omuzira gunaalekera awo okugwa; olyoke otegeere ng’ensi eno Mukama ye nannyini yo.

Read full chapter