Add parallel Print Page Options

(A)“Noolwekyo tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama. Ndibatikkulako emigugu gy’Abamisiri, era ndibawonya obuddu, ne mbanunula n’omukono gwange ogw’amaanyi nga nsalira Abamisiri omusango.

Read full chapter

(A)Naye ndikakanyaza omutima gwa Falaawo; ne bwe ndikolera ebyamagero ebingi ennyo mu nsi y’e Misiri,

Read full chapter

19 (A)Weerabirako n’amaaso go gennyini ebibonoobono, n’obubonero obw’ebyamagero, n’eby’ekyewuunyo, Mukama bye yakozesa okukuggya mu nsi y’e Misiri n’omukono gwe omuwanvu ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo bw’atyo bw’anaakolanga amawanga ago gonna g’otya.

Read full chapter

(A)Bw’atyo Mukama n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola, n’obuyinza bwe obw’entiisa, n’obubonero, n’ebyamagero eby’ekitalo.

Read full chapter

Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse

(A)Awo Musa n’agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ng’abaddu, kubanga Mukama yabaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa.

Read full chapter

12 era n’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi amangi, n’obuyinza obw’entiisa bwe yayoleka mu Isirayiri yenna.

Read full chapter