Add parallel Print Page Options

19 (A)Naye mmanyi nga kabaka w’e Misiri talibakkiriza kugenda, wabula ng’awalirizibbwa n’amaanyi mangi.

Read full chapter

20 (A)Kyendiva nkozesa amaanyi gange, ne mbonereza Misiri n’ebyamagero bye ndikolera mu nsi omwo; n’oluvannyuma alibakkiriza ne mugenda.

Read full chapter

(A)Naye ndikakanyaza omutima gwa Falaawo; ne bwe ndikolera ebyamagero ebingi ennyo mu nsi y’e Misiri,

Read full chapter

13 (A)Naye era omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nga Mukama bwe yali agambye.

Read full chapter

12 (A)Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atawuliriza Musa ne Alooni, era nga Mukama bwe yagamba Musa.

Read full chapter

35 (A)Omutima gwa Falaawo bwe gutyo ne gukakanyala; n’ataleka baana ba Isirayiri kugenda, era nga Mukama bwe yayogerera mu Musa.

Read full chapter

(A)Nzija kukakanyaza omutima gwa Falaawo, alyoke abawondere. Naye ndyefunira ekitiibwa okuva ku bye ndikola Falaawo n’eggye lye lyonna; n’Abamisiri balitegeera nga nze Mukama.” Abaana ba Isirayiri ne bakola bwe batyo.

Read full chapter

(A)Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo Kabaka w’e Misiri, n’agoberera abaana ba Isirayiri. Abaana ba Isirayiri ne bakwata olugendo lwabwe nga tebaliiko gwe batya.

Read full chapter

30 (A)Naye Sikoni Kabaka wa Kesuboni n’atatukkiriza kuyitawo. Kubanga Mukama Katonda wammwe yali akakanyazizza omwoyo gwe era ng’awaganyazizza omutima gwe, alyoke amugabule mu mukono gwammwe nga bwe kiri leero.

Read full chapter

17 (A)Ayi Mukama Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go,
    n’okakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya?
Komawo olw’obulungi bw’abaddu bo
    amawanga g’omugabo gwo.

Read full chapter

40 (A)“Katonda yabaziba amaaso,
    era n’abakakanyaza emitima,
amaaso gaabwe galeme okulaba,
    era n’emitima gyabwe gireme okutegeera,
    era gireme okukyuka, mbawonye.”

Read full chapter

18 (A)Noolwekyo Katonda asaasira oyo gw’ayagala okusaasira, ate n’akakanyaza omutima gw’oyo gw’ayagala okukakanyaza.

Read full chapter