Add parallel Print Page Options

33 (A)Temubakkirizanga kubeera mu nsi yammwe, tebalwa kubanyoomesa biragiro byange; kubanga singa muweereza bakatonda baabwe muliba mugudde mu mutego.”

Read full chapter

13 (A)mukitegeererewo nti Mukama Katonda wammwe tagenda kweyongera kubagobamu mawanga gano, naye ganaafuukanga emitego era enkonge gye muli, embooko ezinaabakubanga mu mbiriizi, n’amaggwa aganaabafumitanga mu maaso gammwe okutuusa lwe mulizikirira mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawadde.

Read full chapter

21 (A)Sawulo n’alowooza mu mutima gwe nti, “Nzija kumumuwa afuuke omutego, omukono gw’Abafirisuuti gulyoke gumuzikirize.” Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti, “Kaakano ofunye omukisa ogwokubiri okuba mukoddomi wange.”

Read full chapter

26 (A)Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa,
    ye mukazi alina omutima ogusendasenda,
era ogusikiriza,
    era emikono gye gisiba ng’enjegere.
Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo,
    kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.

Read full chapter

19 (A)Abalogo ne bagamba Falaawo nti, “Engalo ya Katonda bino y’ebikoze.” Naye omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, n’atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye.

Read full chapter