Add parallel Print Page Options

15 Naye nannyini yo bw’anaabangawo, taaliyirwenga. Ensolo ng’ebadde epangisibbwa bupangisibwa, omuwendo ogugipangisizza gunaamalanga mu kugisasulira.

Read full chapter

25 (A)“Bw’owolanga ensimbi omu ku bantu bange abali mu mmwe, ng’ali mu kwetaaga, teweeyisanga ng’abawozi b’ensimbi abalala; tomusasuzanga magoba. 26 (B)Bw’otwalanga ekyambalo ky’omuntu ng’akakalu, kimuddize ng’enjuba egenda okugwa; 27 (C)kubanga ekyambalo kye ekyo kye ky’okwebikka kye kyokka ky’alina. Kale bw’otokimuddiza olwo asule mu ki? Bw’anankaabiriranga nzijanga kumuwuliriza, kubanga ndi wa kisa.

Read full chapter

15 (A)Onoomusasulanga empeera ye eya buli lunaku ng’enjuba tennaba kugwa, kubanga mwavu n’omutima gwe gubeera ku mpeera eyo. Kubanga bw’onoomulagajjaliranga, anaayinzanga okukaabirira Mukama Katonda n’akuloopayo, bw’otyo onoogwanga mu musango ogw’ekibi.

Read full chapter

(A)Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye.

Read full chapter