Ekyamateeka Olwokubiri 5:16-20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale, era obeerenga n’emirembe, mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
17 (B)Tottanga.
18 (C)Toyendanga.
19 Tobbanga.
20 Towaayirizanga muntu munno.
Ebyabaleevi 19:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)“Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze Mukama.
Read full chapter
Matayo 5:43
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Mwagale Abalabe Bammwe
43 (A)“Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo, naye okyawenga mulabe wo.’
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.