Add parallel Print Page Options

Okuyita mu Nnyanja Emyufu

21 (A)Awo Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n’asindika ku nnyanja embuyaga ez’amaanyi ezaava ebuvanjuba, ne zigobawo amazzi ekiro kyonna, ne lufuuka lukalu, ng’amazzi gayawuddwamu.

Read full chapter

22 (A)Katonda ye yabaggya mu Misiri,
    balina amaanyi ng’aga sseddume ey’omu nsiko.

Read full chapter

Sikoni Awangulwa

21 (A)Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli ng’amugamba nti,

Read full chapter

24 (A)Isirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe.

Read full chapter

34 (A)Mukama n’agamba Musa nti, “Tomutya; kubanga mugabudde mu mukono gwo, n’eggye lye lyonna awamu n’ensi ye; omukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abamoli eyafugiranga mu Kesuboni.”

35 Bwe batyo ne bamutta, ne batabani be, n’eggye lye lyonna, ne batawonyaawo muntu n’omu[a]. Ensi ye ne bagirya.

Read full chapter

Footnotes

  1. 21:35 Oluvannyuma lw’obuwanguzi obwo, Isirayiri yafuga ebuvanjuba bwa Yoludaani bwonna okuviira ddala mu Mowaabu okutuuka ku nsozi za Basani mu nsi y’e Kerumooni. Abayisirayiri baateranga okuyimba ennyimba n’okujaguza olw’okuwangula Sikoni ne Ogi (Zab 135:10-11; 136:19-20).