Okuva 12:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 Baddiranga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zombi ne waggulu, ku mwango gw’oluggi lwa buli nnyumba mwe baliriira omwana gw’endiga.
Read full chapter
2 Abakkolinso 1:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)era ye oyo eyatussaako akabonero, n’atuwa amazima g’omwoyo mu mitima gyaffe.
Read full chapter
Okubikkulirwa 7:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)“Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, n’ennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero k’envumbo ka Katonda akakulu ku byenyi by’abaweereza ba Katonda waffe.”
Read full chapter
Okubikkulirwa 9:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe.
Read full chapter
Zabbuli 119:136
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
136 (A)Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,
olw’abo abatakwata mateeka go.
Yeremiya 13:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Naye bwe mutaafeeyo,
emmeeme yange eneekaabira mu kyama
olw’amalala gammwe;
amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyini
gakulukuse amaziga
era ekisibo kya Mukama kijja kuwambibwa.
Ezeekyeri 21:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)“Omwana w’omuntu, kyonoova okaabira mu maaso gaabwe ng’omutima gwo gujjudde ennaku n’obuyinike.
Read full chapter
Zabbuli 119:53
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
53 (A)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
abaleka amateeka go.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.