Add parallel Print Page Options

(A)Nze muntu eyakangavvulwa
    n’omuggo ogw’obusungu bwe.
(B)Angobye mu maaso ge n’antambuliza
    mu kizikiza, awatali kitangaala;
(C)ddala, omukono gwe gunnwanyisizza
    emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.

(D)Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange
    era amenye n’amagumba gange.
(E)Antaayizza n’anzijuza
    obulumi n’okubonaabona.
(F)Antadde mu kizikiza
    ng’abafu abaafa edda.

(G)Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka,
    ansibye enjegere ezizitowa.
(H)Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe,
    okusaba kwange akuggalira bweru.
(I)Anteeredde amayinja mu kkubo lyange
    era akyamizza amakubo gange.

10 Ng’eddubu bwe liteega,
    n’empologoma bwe yeekweka
11 (J)yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula
    n’andeka awo nga sirina anyamba.
12 (K)Yanaanuula omutego gwe,
    n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe.

13 (L)Yafumita omutima gwange
    n’obusaale okuva mu mufuko gwe.
14 (M)Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna,
    era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.
15 (N)Anzijuzza ebikaawa
    era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe.

16 (O)Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka;
    anninnyiridde mu nfuufu.
17 Emmeeme yange terina mirembe,
    n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.
18 (P)Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,
    n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”

19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
    n’obulumi n’obubalagaze.
20 (Q)Mbijjukira bulungi
    era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
21 Ebyo byonna mbijjukira,
    kyenvudde mbeera n’essuubi.

22 (R)Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
    tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23 (S)Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
    n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
24 (T)Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,
    kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”

25 (U)Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,
    eri oyo amunoonya.
26 (V)Kirungi omuntu okulindirira
    obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
27 Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye
    mu buvubuka bwe.

28 (W)Atuulenga yekka mu kasirise
    kubanga Mukama y’akimwambiseemu.
29 (X)Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.
30 (Y)Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa,
    era amalibwe n’okuvumibwa.

31 (Z)Kubanga Mukama taligobera bantu bweru
    ebbanga lyonna.
32 (AA)Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa
    kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.
33 (AB)Tagenderera kuleeta bulumi
    newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.

34 Mukama akkiriziganya
    n’okulinnyirira abasibe,
35 n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe
    mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo,
36 (AC)oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?

37 (AD)Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira,
    Mukama nga takiragidde?
38 (AE)Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo,
    si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?
39 (AF)Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya,
    bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?

40 (AG)Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,
    tudde eri Mukama.
41 (AH)Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe
    eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
42 (AI)“Twayonoona ne tujeema,
    tokyerabiranga era tonatusonyiwa.

43 (AJ)“Ojjudde obusungu n’otugobaganya,
    n’otutta awatali kutusaasira.
44 (AK)Weebisseeko ekire,
    waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.
45 (AL)Otufudde obusa n’ebisasiro
    mu mawanga.

46 (AM)“Abalabe baffe bonna batwogerako
    ebigambo ebibi.
47 (AN)Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego
    n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”
48 (AO)Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga
    olw’okuzikirira kw’abantu bange.

49 (AP)Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga
    awatali kusirika,
50 (AQ)okutuusa Mukama lw’alisinzira
    mu ggulu n’alaba.
51 Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,
    olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.

52 (AR)Abalabe bange banjigganya olutata
    ne baba ng’abayigga ennyonyi.
53 (AS)Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,
    ne bankasuukirira amayinja;
54 (AT)amazzi gaabikka omutwe gwange,
    ne ndowooza nti, nsanyeewo.

55 (AU)“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,
    nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
56 (AV)wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go
    eri okukaaba kwange.”
57 (AW)Bwe nakukoowoola wansemberera
    n’oyogera nti, “Totya!”

58 (AX)Mukama watunula mu nsonga yange,
    era n’onunula obulamu bwange.
59 (AY)Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola,
    obasalire omusango nga bwe kibagwanira.
60 (AZ)Walaba bwe bampalana,
    n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.

61 Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda,
    n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,
62 (BA)obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange
    bye bantesaako obudde okuziba.
63 Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;
    bannyooma nga bwe bannyimbirira.

64 (BB)Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda,
    olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe.
65 (BC)Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe,
    n’ekikolimo kyo kibabeereko.
66 Obayigganye mu busungu bwo obazikirize
    ng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.