Add parallel Print Page Options

16 (A)“Kyenva nkaaba,
    amaaso gange ne gajjula amaziga,
kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,
    ayinza okunzizaamu amaanyi.
Abaana bange banakuwavu
    kubanga omulabe awangudde.”

Read full chapter

48 (A)Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga
    olw’okuzikirira kw’abantu bange.

49 (B)Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga
    awatali kusirika,
50 (C)okutuusa Mukama lw’alisinzira
    mu ggulu n’alaba.
51 Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,
    olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.

Read full chapter

20 (A)“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
    Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
    kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
    ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.

Read full chapter

19 (A)Golokoka, okaabe ekiro
    obudde nga bwa kaziba;
Fuka emmeeme yo ng’amazzi
    mu maaso ga Mukama.
Yimusa emikono gyo gy’ali,
    olw’obulamu bw’abaana bo abato
abazirise olw’enjala
    mu buli luguudo.

Read full chapter

14 (A)Ngiyiddwa ng’amazzi,
    n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
    era gusaanuukidde mu mubiri gwange.

Read full chapter

(A)Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina,
    olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke;
abaana basaba emmere
    naye tewali n’omu agibawa.

Read full chapter