Okubikkulirwa 5:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)N’asembera n’aggya omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka.
Read full chapter
Okubikkulirwa 5:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti,
“Okutenderezebwa, n’ettendo, n’ekitiibwa,
n’amaanyi by’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka awamu n’Omwana gw’Endiga,
Emirembe n’emirembe.”
Ezeekyeri 2:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Awo ne ntunula, ne ndaba omukono nga gugoloddwa gye ndi, mu gwo nga mulimu omuzingo gw’ekitabo.
Read full chapter
Ezeekyeri 2:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)N’agwanjuluriza mu maaso gange, munda nga muwandiikibbwamu ne kungulu nga kuwandiikibbwako ebigambo eby’okukungubaga n’okukuba ebiwoobe, n’okukaaba.
Read full chapter
Isaaya 29:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.”
Read full chapter
Danyeri 12:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Naye ggwe Danyeri, bikka era osse envumbo ku kitabo okutuusa ekiseera eky’enkomerero lwe kirituuka. Bangi balitambula eno n’eri, era n’okumanya n’amagezi kulyeyongera.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.