Add parallel Print Page Options

(A)Ne mu maaso g’entebe eyo waaliwo ekiri ng’ennyanja ey’endabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n’emabega waabyo nga biri wakati w’entebe ey’obwakabaka n’okugyetooloola.

(B)Ekisooka ku biramu bino kyali ng’empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng’ennyana, n’ekyokusatu kyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’ekyokuna kyali ng’empungu, ebuuka. (C)Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti,

“Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu,
Mukama Katonda Ayinzabyonna,
Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”

Read full chapter

15 Bwe nnali nga nkyali ku ebyo, ne ndaba zinnamuziga ku ttaka emabbali wa buli kiramu, n’ebyenyi byabyo ebina. 16 (A)Endabika eya zinnamuziga n’okukolebwa kwazo kwali nga berulo,[a] zonna nga zifaanana. Buli emu yafaanana nga nnamuziga ekwataganye ne ginnaayo. 17 (B)Era zeetoolooleranga mu njuyi zonna ennya, nga tezizinaazina ng’ebiramu bitambula. 18 (C)Empanka zaazo zaali mpanvu nga zitiisa, era empanka ennya zonna nga zijjuddemu amaaso.

19 Ebiramu bwe byaseeseetukanga, zinnamuziga zaabyo nazo ne ziseeseetuka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva mu ttaka zinnamuziga nazo ne zigolokoka. 20 (D)Omwoyo buli gye yabanga agenda, gye byagendanga, ne zinnamuziga ne zisitukira wamu nazo, kubanga omwoyo eyali mu biramu ye yabanga ne mu zinnamuziga. 21 (E)Ebiramu bwe byaseeseetukanga, nazo ne ziseeseetuka, ebiramu bwe byasitukanga, nazo ne zisituka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva ku ttaka, ne zinnamuziga ne zigolokokera wamu nazo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yabanga mu zinnamuziga.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:16 Berulo ejjinja ery’omuwendo