Add parallel Print Page Options

Bamalayika Omusanvu n’Ebibonoobono Omusanvu

15 (A)Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu ak’amaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire. (B)Awo ne ndaba ekifaanana ng’ennyanja etangalijja ng’eri ng’endabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo n’ekifaananyi kyakyo awamu n’akabonero ak’omuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa. (C)Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti,

“Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo,
    ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Amakubo go matukuvu era ga mazima,
    ayi ggwe Kabaka w’amawanga.
(D)Ani ataakutye Ayi Mukama,
    n’atagulumiza linnya lyo?
Ggwe wekka gwe Mutukuvu,
amawanga gonna galijja
    ne gasinziza mu maaso go,
Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”

(E)Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba Yeekaalu ng’eggaddwawo, lye kkuŋŋaaniro ly’obujulirwa mu ggulu. (F)Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu. (G)Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe n’emirembe. (H)Awo Yeekaalu n’ejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda n’emu maanyi ge, so tewaali muntu n’omu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.

Seven Angels With Seven Plagues

15 I saw in heaven another great and marvelous sign:(A) seven angels(B) with the seven last plagues(C)—last, because with them God’s wrath is completed. And I saw what looked like a sea of glass(D) glowing with fire and, standing beside the sea, those who had been victorious(E) over the beast(F) and its image(G) and over the number of its name.(H) They held harps(I) given them by God and sang the song of God’s servant(J) Moses(K) and of the Lamb:(L)

“Great and marvelous are your deeds,(M)
    Lord God Almighty.(N)
Just and true are your ways,(O)
    King of the nations.[a]
Who will not fear you, Lord,(P)
    and bring glory to your name?(Q)
For you alone are holy.
All nations will come
    and worship before you,(R)
for your righteous acts(S) have been revealed.”[b]

After this I looked, and I saw in heaven the temple(T)—that is, the tabernacle of the covenant law(U)—and it was opened.(V) Out of the temple(W) came the seven angels with the seven plagues.(X) They were dressed in clean, shining linen(Y) and wore golden sashes around their chests.(Z) Then one of the four living creatures(AA) gave to the seven angels(AB) seven golden bowls filled with the wrath of God, who lives for ever and ever.(AC) And the temple was filled with smoke(AD) from the glory of God and from his power, and no one could enter the temple(AE) until the seven plagues of the seven angels were completed.

Footnotes

  1. Revelation 15:3 Some manuscripts ages
  2. Revelation 15:4 Phrases in this song are drawn from Psalm 111:2,3; Deut. 32:4; Jer. 10:7; Psalms 86:9; 98:2.