Add parallel Print Page Options

10 (A)oyo alinywa ku nvinnyo y’obusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe eky’obusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa n’omuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga. 11 (B)Omukka gw’okubonaabona kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana n’ekiro abo abaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza n’okuteekebwako akabonero ak’erinnya lyakyo.

Read full chapter

(A)Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Aleruuya!
Omukka ogw’okwokebwa kwe n’omuliro, gunyooka emirembe n’emirembe!”

Read full chapter

20 (A)Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna,
    so tekiribeerwamu emirembe n’emirembe,
so teri Muwalabu alisimbayo weema ye,
    teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo.

Read full chapter

Mukama Ayogera ku Kuzikiriza Ensi

24 (A)Laba Mukama alifuula ensi amatongo,
    agimalirewo ddala,
era azikirize n’obwenyi bwayo
    era asaasaanye n’abagibeeramu.

Read full chapter

12 (A)Ndifuula ensi ey’e Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era n’ebibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.

Read full chapter

(A)Esawu namukyawa ne nfuula ensi ye ey’ensozi okuba amatongo, obusika bwe ne mbuwa ebibe eby’omu ddungu.”

Read full chapter