Okubala 26:38-41
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
38 (A)Ab’omu kika kya Benyamini ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:
abaava mu Bera, lwe lunyiriri lw’Ababera;
abaava mu Asuberi, lwe lunyiriri lw’Abasuberi
abaava mu Akiramu, lwe lunyiriri lw’Abakiramu
39 abaava mu Sufamu, lwe lunyiriri lw’Abasufamu;
abaava mu Kufamu, lwe lunyiriri lw’Abakufamu.
40 (B)Abazzukulu ba Bera nga bava mu Aluda ne Naamani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
abaava mu Aluda, lwe lunyiriri lw’Abaluda;
abaava mu Naamani, lwe lunyiriri lw’Abanaamani.
41 (C)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).
2 Ebyomumirembe 17:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Okuva mu Benyamini:
Eriyada, omuserikale omuzira, eyaduumiranga abasajja ab’obusaale n’engabo emitwalo amakumi abiri (200,000),
Okubikkulirwa 7:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 ab’omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Abo be baateekebwako akabonero k’envumbo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.