Okubala 14:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe[a],
Read full chapterFootnotes
- 14:6 ne bayuzaayuza engoye zaabwe kaali kabonero ak’okukaaba n’okulaga obusungu.
2 Samwiri 13:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Tamali n’ateeka evvu mu mutwe gwe, n’ayuza ekyambalo kye, n’ateeka omukono ku mutwe gwe n’agenda ng’akaaba.
Read full chapter
Ezeekyeri 27:30-31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Baliyimusa amaloboozi gaabwe
ne bakukaabira nnyo;
era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe
ne beevulunga mu vvu.
31 (B)Balikumwera emitwe gyabwe,
era Balyambala ebibukutu.
Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde
nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.
Yona 3:5-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.
6 (B)Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu.
Read full chapter
Okuva 11:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Wajja kubaawo okukungubaga okunene mu nsi yonna eya Misiri, okutabangawo era nga tewagenda kubaawo kukwenkana.
Read full chapter
Zabbuli 30:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ofudde okwaziirana kwange amazina;
onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.