Add parallel Print Page Options

(A)“Ebitundu bino: Atalisi, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimula, ne Kesuboni, ne Ereyale, ne Sebamu, ne Nebo ne Beoni,

Read full chapter

(A)Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
    n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi.
Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
    emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.

Read full chapter

10 (A)Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola.

Read full chapter

(A)Omutima gwange gukaabira Mowaabu;
    abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali
    ne Yegulasuserisiya.
Bambuka e Lakisi
    nga bwe bakaaba;
bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu
    nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.

Read full chapter

(A)Amazzi g’e Nimulimu gakalidde,
    omuddo guwotose,
omuddo omugonvu, guggwaawo,
    tewali kintu kimera.

Read full chapter