Add parallel Print Page Options

18 (A)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alimu omwoyo[a], omusseeko omukono gwo. 19 (B)Muyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna, omukuutirire mu maaso gaabwe. 20 (C)Mukwase ekitundu ky’obuyinza bwo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri batandike okumugondera. 21 (D)Anajjanga n’ayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ng’akozesa Ulimu mu maaso ga Mukama Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bw’anaalagiranga banaafulumanga, era bw’anaalagiranga banaayingiranga.”

22 Awo Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Yatwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna. 23 Bw’atyo n’amussaako emikono gye, n’amukuutira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Read full chapter

Footnotes

  1. 27:18 alimu omwoyo obuyinza Katonda bw’awa omuntu okukola n’obumalirivu

(A)Mukama Katonda wo yennyini y’ajja okukukulembera mu kusomoka. Ajja kuzikiriza amawanga ago agali emitala, nga naawe olaba, olyoke obatwaleko ensi yaabwe. Yoswa yennyini naye yajja okukukulembera mu kusomoka, nga Mukama bwe yagambye.

Read full chapter

23 (A)Awo Mukama n’awa Yoswa mutabani wa Nuuni ekiragiro kino ng’agamba nti, “Beera wa maanyi era guma omwoyo, kubanga ggw’oliyingiza abaana ba Isirayiri mu nsi gye nabasuubiza nga ngibalayirira; era nange nnaabeeranga naawe.”

Read full chapter