Add parallel Print Page Options

(A)Mukama n’agamba Musa nti, “Kwata abakulembeze b’abantu bano obatte, obaanike mu maaso ga Mukama abantu bonna we babalabira, obusungu bwa Mukama bulyoke bukkakkane buve ku Isirayiri.”

Read full chapter

17 (A)Tewaabeerengawo kintu na kimu ku ebyo ebinaabanga bimaze okukolimirwa ky’onoosangibwanga nakyo, bwe butyo obusungu bwa Mukama obunaabanga obungi ennyo bunakkakkananga; anaakukwatirwanga ekisa, n’akulaganga okwagala kwe, n’akwongeranga okwala, nga bwe yalayirira bajjajjaabo,

Read full chapter

24 (A)Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakwata Akani muzzukulu wa Zeera ne bye yanyaga: effeeza, ne zaabu, n’ekyambalo. Ne bamutwala ne batabani be, ne bawala be, n’ente ze n’endogoyi ze, n’endiga ze, n’eweema ye ne byonna bye yalina ne babiserengesa mu kiwonvu Akoli.

Read full chapter

10 (A)Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo,
    era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira
    olw’abantu bange abannoonya.

Read full chapter

15 (A)Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu,
    ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli[a] oluggi olw’essuubi.
Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe,
    era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:15 Akoli kitegeeza emitawaana