Add parallel Print Page Options

Sikoni Awangulwa

21 (A)Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli ng’amugamba nti,

22 (B)“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.”

Read full chapter

Okuwangula Sikoni Kabaka w’e Kesuboni

26 Nga tuli mu ddungu ly’e Kedemosi natumira Sikoni Kabaka w’e Kesuboni n’obubaka obw’okuteesa emirembe nga mmugamba nti, 27 (A)“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka nga tetuwunjuseeko kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono.

Read full chapter