Add parallel Print Page Options

Abaleevi bo Tebaabalibwa

47 (A)Abazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa.

Read full chapter

Okubala Abaleevi

57 (A)Bano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali:

abaava mu Gerusoni, lwe lunyiriri lw’Abagerusoni;

abaava mu Kokasi, lwe lunyiriri lw’Abakokasi;

abaava mu Merali, lwe lunyiriri lw’Abamerali.

58 (B)Ne zino nazo nnyiriri za Baleevi:

olunyiriri lw’Ababalibuni,

olunyiriri lw’Abakebbulooni,

olunyiriri lw’Abamakuli,

olunyiriri lw’Abamusi,

n’olunyiriri lw’Abakoola.

Kokasi yazaala Amulaamu. 59 (C)Erinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu. 60 (D)Alooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. 61 (E)Kyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama.

62 (F)Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.

Read full chapter