Add parallel Print Page Options

(A)Bbugwe bwe yaggwa okuzimba nga n’enzigi ziwangiddwamu, abakuumi ba wankaaki, n’abayimbi, n’Abaleevi nga bamaze okulondebwa,

Read full chapter

65 (A)Era owessaza n’abagaana okulya ku bintu ebitukuvu, okutuusa nga kabona alina Ulimu ne Sumimu azze.

Read full chapter

70 Abamu ku bakulu b’obusolya baawaayo ensimbi okukola omulimu. Gavana n’awaayo, kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebbensani amakumi ataano (50), n’ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu (530) mu ggwanika.

Read full chapter

(A)Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.

Read full chapter

12 (A)Munaasanyukiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n’abaweereza bammwe abasajja, n’abaweereza bammwe abakazi, n’Abaleevi ab’omu bibuga byammwe, kubanga bo ku bwabwe tebalifuna mugabo oba obusika okufaanana nga mmwe.

Read full chapter

14 (A)Onoojaguzanga ng’oli ku Mbaga eyo, ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja, n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi, n’omunnaggwanga, ne mulekwa, ne nnamwandu, abanaabeeranga mu bibuga byo. 15 (B)Onoomalanga ennaku musanvu ng’ojaguza ku Mbaga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky’aneeronderanga. Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byonna eby’amakungula go, ne mu mirimu gyo gyonna gy’onootuusangako engalo zo, essanyu lyo bwe lityo linaabanga lijjuvu.

Read full chapter