Matayo 14:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ng’ali eyo yekka.
Read full chapter
Makko 1:35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yesu Asaba yekka mu Kifo eteri Bantu
35 (A)Enkeera ng’obudde tebunnalaba yesu n’azuukuka n’agenda yekka mu kifo ekyekusifu, okusaba.
Read full chapter
Makko 6:46
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
46 (A)Bwe yamala okubasiibula n’alinnya ku lusozi okusaba.
Read full chapter
Lukka 5:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Naye bwe yasalangawo akabanga, ne yeeyawula n’alagako mu bifo eteri bantu, okusaba.
Read full chapter
Lukka 6:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abatume Ekkumi n’Ababiri
12 (A)Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu n’alinnya waggulu ku lusozi okusaba, n’asaba ekiro kyonna eri Katonda.
Read full chapter
Lukka 9:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Peetero Ayatula nti Yesu ye Kristo
18 (A)Lwali lumu Yesu bwe yali ng’asaba yekka kyokka nga n’abayigirizwa be bali awo, n’ababuuza nti, “Ebibiina bimpita ani?”
Read full chapter
Lukka 9:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okufuusibwa
28 (A)Awo nga wayiseewo ng’ennaku munaana, Yesu n’atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne bambuka ku lusozi okusaba.
Read full chapter
Lukka 11:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yesu Ayigiriza Okusaba
11 (A)Awo olwatuuka Yesu ng’ali mu kifo ekimu ng’asaba, bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusaba nga Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.