Matayo 5:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lw’abakulembeze b’Abayudaaya n’awozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena.
Read full chapter
Engero 14:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Omuntu asunguwala amangu akola eby’obusirusiru,
n’omukalabakalaba akyayibwa.
Yakobo 1:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuwuliriza n’okukola
19 (A)Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.